CRIME PREVENTERS
AS A MILITARY POLICE FORCE

Government ya Uganda etambuza abalwanyisa obuzigu mukulonda okugenda mumaaso(Crime preventers)
19/12/2015
Lwaki Banna
Uganda ate be basaba ssente z’obuyambi okusalwako?
May 03, 2014

Abbey Walusimbi ( ku ddyo), Titus Kirabo ne Edriss Kironde abatalaaga ensi z’Abazungu okubamatiza ku buyambi.
Bya Abbey Walusimbi
AKALULU ka 2016 nga kabindabinda, mwe tusuubira abantu obukadde 10 okulonda Pulezidenti n’ababaka ba Palamenti, buli ludda lugezaako okwessa ku mwanjo.
Ffe abawagizi ba NRM mu nsi z’ebweru, tugezaako okumatiza amawanga n’amakampuni agagaba obuyambi wamu ne bayinvesita abaagala okuleeta ssente mu Uganda baleme kukwataganya bulungi bwakuleeta nsimbi mu Uganda ku kikula kya muntu na ndowooza ya byakwegatta.
Etteeka erikugira ebisiyaga bwe lyayisiddwa amawanga g’Abazungu agamu gagenda olukongoolo kulussa ku bakungu ba Gavumenti ng’okubamma viza era waliwo abamu abaaluguddemu edda!
Okugeza omuduumizi omu owa Poliisi mu Kampala abadde asuubirwa mu Amerika okusoma baamummye viza, omubaka wa Palamenti omu omukazi yabadde alina omukiolo gw’okumuweerako ekirabo naye viza yamummiddwa sso nga teyakuba kalulu ku tteeka lino. Bannaffe abali ku ludda oluvuganya nabo engabo bagirumizza mannyo, tukitegedde nti abamu bagenda bayitaayita mu mawanga gano, nga bagasaba okusalako obuyambi obumu olw’etteeka lino. Babagamba nti kino kye kiyinza okusuula Gavumenti ya NRM.
Enjawukana zibizadde
Ekibuuzo kiri nti kiki ekiyinza okulemesa NRM okuwangula akalulu ka 2016? Nze aba NRM abali ebweru tukola butaweera okulaba nga bammemba b’ekibiina si be bavaako okufiirwa akalulu.
Okwerumaaluma okw’omunda kitono nnyo okusinga ku buzibu bwe tuyinza okufuna okuva ebweru w’eggwanga. N’olwekyo enjawukana munda mu kibiina tuzikendeeze lwe tunaasobola okwang’anga ekizibu ekinene ekitujjidde.
Bammemba ba NRM ebweru w’eggwanga be nkulembera, naddala mu Amerika, Bungereza n’amawanga nga Norway, Sweden, Budaaki n’amalala tukoze pulaani eyinza okuyitibwamu okulwanyisa obukyayi bwe tuyinza okufuna mu mawanga g’Abazungu era agayinza okweyambisibwa okutugatta nga bammemba ng’okulonda tekunnatuuka.
Omwogezi w’ekibiina kyaffe, Edriss Kironde abeera e Colorado yalabudde nti yadde tuteekwa okumanya buli maanyi agaagala okusuula NRM, ekizibu ekisinga kiyinza kuva mu kulwanagana okw’omunda.
“Wadde NRM eyaniriza buli omu naye tusaanye okwegendereza abeeyita bakkaada mu mawanga g’ebweru sso nga bagiriira munda nga kigenge,” Kironde bwe yagambye. Ekibiina ekigatta aba NRM mu mawanga gano kibadde kitalaaga ebibuga n’ensi era bino bye baafunye mu bammemba:
1. Bonna bakkaanyizza n’akabindo ka NRM mu Palamenti, okuwagira Pulezidenti Museveni akwate omumuli gw’ekibiina nga tavuganyiziddwa mu kalulu ka 2016.
Endowooza eri nti kino kye kiyinza okuggyawo enjawukana mu kibiina, twang’ange abatuvuganya nga tewali kwetemamu.
Ekirungi nti ne Ssaabawandiisi Patrick Amama Mbabazi naye yassa omukono ku kiteeso kye kimu ate ng’akakiiko akafuzi ke kajja okusala eky’enkomeredde.
2. Okuwa bammemba amagezi ku ngeri y’okuwooyawooyamu amawanga g’Abazungu ku nsonga z’ebisiyaga, nga tubalaga engeri Abazungu gye balina okuwa ekitiibwa obuwangwa bw’abantu abalala.
3. Okutumbula enkolagana mu byobusuubuzi wakati wa Uganda n’amawanga bammemba gye bali. Tujja kusindika ebibiina by’abasuubuzi babalage obulungi bw’okussa ssente mu Uganda.
Ekiwayi kya NRM e Stockholm, Sweden kye twakyalidde omwezi oguwedde kyatwanjulidde pulojekiti y’okulima n’okusunsula katunguluccumu alina akatale ak’obuliwo mu Sweden n’awalala.
4. Okussaawo emirimu ne pulojekiti ezivaamu ssente eziyamba ekibiina kya NRM n’emirimu gyakyo sinakindi n’ebibiina ebirala.
5. Bammemba baasazeewo ttabamiruka wa bammemba ba NRM abali ebweru okumussa mu kibuga London ekya Bungereza, gye tujja okusisinkanira ssentebe Pulezidenti Museveni.
Ebibiina bisseewo pulojekiti z’ensimbi
Ekibiina kya NRM Diaspora League kirina abawagizi empagi luwaga babiri, Ssentebe wa NRM Pulezidenti Museveni ne Ssaabawandiisi Amama Mbabazi, era tubeebaza olw’obuwagizi bwabwe.
N’olwekyo ebyasalibwawo e Kyankwanzi tebirina kutwawula, wabula okutugatta. Tekirina nsonga disitulikiti ki ewagira ani, anaakwata omumuli gwa NRM ajja kwetaaga obuwagizi bwa buli omu.
Amagezi
Abakulira NRM mu nsi z’ebweru babadde batalaaga amawanga okuva nga March 23 2014 e Boston ne bagenda e United Kingdom, Sweden, Denmark, Norway, ne batalaaga n’ebibuga California, Colorado, Illinois ne Washington DC.
Yonna gye babadde, ne boogerera ne ku leediyo ne ttivvi, babadde bagezaako okusaba Abazungui bayige okussa ekitiibwa mu buwangwa bwa Bannayuganda. Babategeezezza nti obuyambi bwe baagala okusalako buyamba muntu wabulijjo, sso si bali abali mu Palamenti.
Bammemba baayanirizza obubaka bwa Hon Richard Todwong obulaga nti tewali kukubagana mpawa wakati wa Mw. Mbabazi ne Pulezidenti Museveni, era nti babadde bakola bonna okumala emyaka 30.
Ekibiina kitegese okukyala e Canada, Girimaani, Bufalansa, Japan, China, Malaysia, Buyindi, Botswana, South Afrika ne Nigeria.
Amaanyi gaffe tegali mu kuba nti Pulezidenti Museveni aludde mu buyinza, wabula olw’ebyo Uganda by’etuuseeko mu bukulembeze bwa NRM.
Bammemba abalala abali mu kibiina kuliko Edriss Kironde USA, Male Kamya-USA, Kennedy Burashe, USA, Godius Ayesigye -USA, Med Kasujja -Sweden, Diana Atim- Canada, Adam Kasambula -Sweden, Charles Inyoin -Sweden, Peter Mashate-UK, Dr. Keefa Kiwanuka -UK, Patrick Asiimwe -UK, Barbara Ankunda-UK, Dr. Yusuf Kyeyune-Girimaani, Moses Bukenya-USA, Charity Baira, Jacob Bamwenda-USA.
Abbey Kigozi Walusimbi ye ssentebe wa NRM Diaspora League.
Email: awalusimbi@hotmail.com