CRIME PREVENTERS

AS A MILITARY POLICE FORCE




Government ya Uganda etambuza abalwanyisa obuzigu mukulonda okugenda mumaaso(Crime preventers)

19/12/2015


Lwaki Banna

Uganda ate be basaba ssente z’obuyambi okusalwako?

May 03, 2014



 

Abbey Walusimbi ( ku ddyo), Titus Kirabo ne Edriss Kironde abatalaaga ensi z’Abazungu okubamatiza ku buyambi.

 

Bya Abbey Walusimbi

AKALULU ka 2016 nga kabindabinda, mwe tusuubira abantu obukadde 10 okulonda Pulezidenti n’ababaka ba Palamenti, buli ludda lugezaako okwessa ku mwanjo.

Ffe abawagizi ba NRM mu nsi z’ebweru, tugezaako okumatiza amawanga n’amakampuni agagaba obuyambi wamu ne bayinvesita abaagala okuleeta ssente mu Uganda baleme kukwataganya bulungi bwakuleeta nsimbi mu Uganda ku kikula kya muntu na ndowooza ya byakwegatta.

Etteeka erikugira ebisiyaga bwe lyayisiddwa amawanga g’Abazungu agamu gagenda olukongoolo kulussa ku bakungu ba Gavumenti ng’okubamma viza era waliwo abamu abaaluguddemu edda!

Okugeza omuduumizi omu owa Poliisi mu Kampala abadde asuubirwa mu Amerika okusoma baamummye viza, omubaka wa Palamenti omu omukazi yabadde alina omukiolo gw’okumuweerako ekirabo naye viza yamummiddwa sso nga teyakuba kalulu ku tteeka lino. Bannaffe abali ku ludda oluvuganya nabo engabo bagirumizza mannyo, tukitegedde nti abamu bagenda bayitaayita mu mawanga gano, nga bagasaba okusalako obuyambi obumu olw’etteeka lino. Babagamba nti kino kye kiyinza okusuula Gavumenti ya NRM.

Enjawukana zibizadde

Ekibuuzo kiri nti kiki ekiyinza okulemesa NRM okuwangula akalulu ka 2016? Nze aba NRM abali ebweru tukola butaweera okulaba nga bammemba b’ekibiina si be bavaako okufiirwa akalulu.

Okwerumaaluma okw’omunda kitono nnyo okusinga ku buzibu bwe tuyinza okufuna okuva ebweru w’eggwanga. N’olwekyo enjawukana munda mu kibiina tuzikendeeze lwe tunaasobola okwang’anga ekizibu ekinene ekitujjidde.

Bammemba ba NRM ebweru w’eggwanga be nkulembera, naddala mu Amerika, Bungereza n’amawanga nga Norway, Sweden, Budaaki n’amalala tukoze pulaani eyinza okuyitibwamu okulwanyisa obukyayi bwe tuyinza okufuna mu mawanga g’Abazungu era agayinza okweyambisibwa okutugatta nga bammemba ng’okulonda tekunnatuuka.

Omwogezi w’ekibiina kyaffe, Edriss Kironde abeera e Colorado yalabudde nti yadde tuteekwa okumanya buli maanyi agaagala okusuula NRM, ekizibu ekisinga kiyinza kuva mu kulwanagana okw’omunda.

“Wadde NRM eyaniriza buli omu naye tusaanye okwegendereza abeeyita bakkaada mu mawanga g’ebweru sso nga bagiriira munda nga kigenge,” Kironde bwe yagambye. Ekibiina ekigatta aba NRM mu mawanga gano kibadde kitalaaga ebibuga n’ensi era bino bye baafunye mu bammemba:

1. Bonna bakkaanyizza n’akabindo ka NRM mu Palamenti, okuwagira Pulezidenti Museveni akwate omumuli gw’ekibiina nga tavuganyiziddwa mu kalulu ka 2016.

Endowooza eri nti kino kye kiyinza okuggyawo enjawukana mu kibiina, twang’ange abatuvuganya nga tewali kwetemamu.

Ekirungi nti ne Ssaabawandiisi Patrick Amama Mbabazi naye yassa omukono ku kiteeso kye kimu ate ng’akakiiko akafuzi ke kajja okusala eky’enkomeredde.

2. Okuwa bammemba amagezi ku ngeri y’okuwooyawooyamu amawanga g’Abazungu ku nsonga z’ebisiyaga, nga tubalaga engeri Abazungu gye balina okuwa ekitiibwa obuwangwa bw’abantu abalala.

3. Okutumbula enkolagana mu byobusuubuzi wakati wa Uganda n’amawanga bammemba gye bali. Tujja kusindika ebibiina by’abasuubuzi babalage obulungi bw’okussa ssente mu Uganda.

Ekiwayi kya NRM e Stockholm, Sweden kye twakyalidde omwezi oguwedde kyatwanjulidde pulojekiti y’okulima n’okusunsula katunguluccumu alina akatale ak’obuliwo mu Sweden n’awalala.

4. Okussaawo emirimu ne pulojekiti ezivaamu ssente eziyamba ekibiina kya NRM n’emirimu gyakyo sinakindi n’ebibiina ebirala.

5. Bammemba baasazeewo ttabamiruka wa bammemba ba NRM abali ebweru okumussa mu kibuga London ekya Bungereza, gye tujja okusisinkanira ssentebe Pulezidenti Museveni.

Ebibiina bisseewo pulojekiti z’ensimbi

Ekibiina kya NRM Diaspora League kirina abawagizi empagi luwaga babiri, Ssentebe wa NRM Pulezidenti Museveni ne Ssaabawandiisi Amama Mbabazi, era tubeebaza olw’obuwagizi bwabwe.

N’olwekyo ebyasalibwawo e Kyankwanzi tebirina kutwawula, wabula okutugatta. Tekirina nsonga disitulikiti ki ewagira ani, anaakwata omumuli gwa NRM ajja kwetaaga obuwagizi bwa buli omu.

Amagezi

Abakulira NRM mu nsi z’ebweru babadde batalaaga amawanga okuva nga March 23 2014 e Boston ne bagenda e United Kingdom, Sweden, Denmark, Norway, ne batalaaga n’ebibuga California, Colorado, Illinois ne Washington DC.

Yonna gye babadde, ne boogerera ne ku leediyo ne ttivvi, babadde bagezaako okusaba Abazungui bayige okussa ekitiibwa mu buwangwa bwa Bannayuganda. Babategeezezza nti obuyambi bwe baagala okusalako buyamba muntu wabulijjo, sso si bali abali mu Palamenti.

Bammemba baayanirizza obubaka bwa Hon Richard Todwong obulaga nti tewali kukubagana mpawa wakati wa Mw. Mbabazi ne Pulezidenti Museveni, era nti babadde bakola bonna okumala emyaka 30.

Ekibiina kitegese okukyala e Canada, Girimaani, Bufalansa, Japan, China, Malaysia, Buyindi, Botswana, South Afrika ne Nigeria.

Amaanyi gaffe tegali mu kuba nti Pulezidenti Museveni aludde mu buyinza, wabula olw’ebyo Uganda by’etuuseeko mu bukulembeze bwa NRM.

Bammemba abalala abali mu kibiina kuliko Edriss Kironde USA, Male Kamya-USA, Kennedy Burashe, USA, Godius Ayesigye -USA, Med Kasujja -Sweden, Diana Atim- Canada, Adam Kasambula -Sweden, Charles Inyoin -Sweden, Peter Mashate-UK, Dr. Keefa Kiwanuka -UK, Patrick Asiimwe -UK, Barbara Ankunda-UK, Dr. Yusuf Kyeyune-Girimaani, Moses Bukenya-USA, Charity Baira, Jacob Bamwenda-USA.

Abbey Kigozi Walusimbi ye ssentebe wa NRM Diaspora League.

Email: awalusimbi@hotmail.com

 

 

Kattikiro wa Buganda

Luther Martin Nsibirwa

 

In 1944-45, the British Protectorate Government, wishing to acquire mailo land for the expansion of Makerere Technical College and the establishment of a Cotton Research Station at Kawanda, dared challenge the sacrosanctity of the Uganda Agreement of 1900. The British changed one word of article15 and went on to compulsory acquire mailo land. This amendment required was from public works to public purposes.

This change was very strongly contested and was to lead to the dismissal and deportation of the Kattikiro, Samwiri Wamala, and to the assassination of his replacement Martin Luther Nsibirwa.

In order to acquire the land the legalistic British, who could have acquired the land by force, wanted a law passed by the Lukiiko of Buganda. This law was to empower the Kabaka to Acquire Land for Purposes Beneficial to the Nation. With this law in place, the Kabaka would then pass on the land acquired to the Protectorate Government. Indeed it was only time when the citizens of Buganda started to loose their lands and many of them and their grandchildren became squatters without any land ownership rights.

 

Mu mwaka 1926 Tefero Kisosonkole ye yali Katikkiro ng’adda mu kifo kya Sir Apollo Kaggwa eyawumula mu mwaka ogwo. Omwaka ogwaddako 1927 Kabaka Daudi Ccwa ng’abeera Munyonyo, eyo gyeyali awulirira emirembe nga yeesudde akabanga ne Mmengo. Eyo kwe kutumayo SALAAMA, amakulu nti Mirembe.

Olukiiko lwa Buganda nga lumaze okulaba nga lutawaana nyo okufuna Kabaka lwatuula ne lusalawo Kabaka akomewo e Mengo Gavana w’anaamulabiranga amangu. Martin Luther Nsibirwa mu kiseera ekyo nga wa Ssaza Mukwenda, era nga mubaka wa Lukiiko. Era okufaanana mukamawe Kabaka, ekiteeso teyakyagala. Yadduka zambwa nabifuwa Kabaka nga Katikiro Kisosonkole no Lukiiko bwe bamuliddemu olukwe e basalawo ye Kabaka kyeyali tayagala, ate nga ne Gavana baali bamuwaddeko dda kkop y’ekiteeso.

Kabaka yayita Kattikiro nga tanaba nakwogera bibadde mu Lukiiko....Kabaka nayomba. Katikkiro nanyiiga. Nasaba alekulire. Era nebamukkiriza, era ne bbaluwa emala omulimu yagiwandiikira awo.

Kabaka yawandiikira Gavana nga Katikkiro bw’alekulidde olwobulwadde. Kabaka bweyadda e Mmengo ng’ekiteeso bwe kyayisbwa, yalonda Nsibirwa okulya Obwakatikkiro.

Kabaka bwakisa omukono Namasole Irene Drussila Namaganda nayagala okufumbirwa Rev. Kigozi.

Katikkiro Nsibirwa yamukiriza songa empisa y’ensi yali temukiriza. Bwatyo Nsibirwa nagobwa kubwa Katikkiro.

Ssekabaka Muteesa II oluvanyuma yalonda Nsibirwa adde ku bwa Katikkiro nga asuubiza nti ye yekka yasobola okukomyawo Namasole atule nate e Lusaka.

Nsibirwa ono bwatyo kumulundi gwe ogwokubiri nga Katikkiro yagaba ettaka eri Abazunga okuzimbako Makerere University awo e Nnyannjeeradde, abatuuze bangi nyo nebagobwawo.

Nsibirwa yali akyayiiya okuzza Namasole ne bamukuba emmundu awo e Namirembe ku makya nga 5/9/1945 nga akedde okusaba nga empisa ye bwe yali. Ekitundu ekisooka kye yafugira kyali kya myaka 13 ate ekyokubiri kya myaka 3. Ensiriba gyeyali ayambadde bagituuma Ssegantebuka Mbamaamidde.

Oluyimba:

1) Ejjembe lye ekkulu Ssegantebuka Mbamaamidde, Teryamulimba nti okusoma ogendanga mu ttuntu tewali musango.

Nti bwoligenda ku nkya balikusiba mu ttu ng’entula...Ye bambi yakeeranga bukeezi okusoma,

Essasi eryajja n’obusungu, lye lyamukuba ekigwo obugazi. Oswadde nnyo okulimba Kabaka n’Obuganda, Nti olizza Namasole, ate Namasole n’akulema okupanga.

2)Omusango gwasinga Katikkiro.

Ate ye Namasole baamuyimba bati:

3)Amaddu g’abakyala Irene yalya ekibe. Baakibaabuza ssanja emmuli zaabula, Yandiridde ku mbuzi ze n’atalya kibe. Katikkiro Nsibirwa ye yakikuba, Baakibaabuza ssanja emmuli zaabula. Bakifumba mu kiro ng’abantu beebase.

For 18 years, Jaycee Lee Dugard was a captive of Philip Garido, her abductor. She had every chance to cry out for help or even flee from captivity. But she didn’t.

Her captor had a small business. Jaycee Lee helped run the business. She received orders via phone and emails. Sometimes she even met and greeted clients at the door - alone. But she never made the choice to escape. She even went out in public. But each time she faithfully returned to the tiny congested shed in the back of the home of the man who reportedly kidnapped her and repeatedly raped her.

Why? Carl Probyn, Jaycee’s stepfather said “Jaycee has strong feelings with this guy”. Why do victims tend to identify with those who victimise them? Is it because it keeps them alive? Is it because they think their wellbeing is embedded in the wellbeing of their tormentors? Is it about self preservation?

In January 2010 she fell out with FDC and founded the Uganda Federal Alliance becoming its first (hopefully not last) President. Her case was strong and she ran a strong campaign. As a believer in Federalism, I agreed with her that for too long many have paid nothing but lip service to federalism. I recall the day I shared a podium at the 2009 Buganda Conference at Hotel Africana. She spoke boldly about our traditional norms and urged participants not to be ashamed of tradition after all tradition and modernity can coexist.

By all counts, Beti Kamya knows what she is doing. After all she is a woman of substance. She is well-educated, articulate and knows the world of politics well.

She is now Kampala minister. And she has joined the fray with gusto. Many have speculated as to how she catapulted herself to the position. Some have even alleged that she was part of the sleeper cell embedded in the Opposition to spy for the Museveni regime.

In defence, she lambasted her critics saying she started as a child of NRM and only joined the Opposition out of disenchantment. And now she has been disenchanted by the opposition, no one knows to what extent, and that is why she has moved full circle to rejoin the NRM. She accuses the Opposition for being blind to her leadership ability and potential. She lauds Museveni for noticing her vast abilities.

Recently, in a teary-eyed emotional outburst in praise of Museveni, she just stopped short of singing Amazing Grace, namely; “I was once was lost but now I am found, was blind but now I see”. She abandoned her own presidential ambitions and declared that she would work tirelessly to ensure that Museveni wins 80 per cent in the 2021.

As infuriating as that about face is, it says something about Ms Kamya’s state of mind. She doesn’t give credit to the Opposition which gave her a platform from which she caught the eye of Museveni. Instead she seems remorseful that she didn’t see the light sooner.

That is the reason I started with the story of Jaycee Lee Dugard. Beti Kamya once called Museveni a “monster”. She now sees him as as a redeemer. What has happened? Has she lost her way the way she lost her way in the 2011 presidential campaigns ending up in Tanzania?

That is what psychologists call the Stockholm syndrome. The term Stockholm syndrome was coined in 1973. Two robbers stormed Kreditbanken in Stockholm, Sweden, and held employees hostage for about a week. In this period the hostages and their captors became very close.

They became emotionally attached and even defended them after the ordeal. The Stockholm syndrome is a “psychological response of a hostage or an individual in a similar situation in which the more dominant person has the power to put the victim’s life in danger.

Perpetrators occasionally use this advantage to get victims to comply with their demands.”

As Niccolo Machiavelli said “Men, when they receive good from whence they expect evil, feel the more indebted to their benefactor.” My advice to Kamya is that she should adjust with equanimity to her new role and station.

There is no need to fret and fume at every criticism. After all, there is a limit to how much you can defend yourself against being misunderstood by those who are bent on doing so.

mpmao@yahoo.com

 

 

'Reduce boarding schools at primary level'

Publish Date: Feb 27, 2015

 

 
Youths living in training camps being politicised in NRM ideologies.
 

By Alex Gahima, Clare Muhindo & David Lumu

KAMPALA - Uganda. Some Ugandan educationists have proposed to government a wide range of changes in the education system of the country, including banning boarding schools at primary level, which they say has endangered the family development of children.


Prof. Abdu Kasozi, the former executive director of the National Council for Higher Education said that if the Ugandan education system is to compete with the changing societal demands and the highly-technology driven world, a group of eminent people need to undertake a study and recommend a revised education curriculum.


Among the proposed reforms Kasozi wants government to adopt include;

 

  • banning the use of calculators in all schools
  • discouraging boarding schools at primary level

     

  • changing the 7 (primary) -6 (secondary)-3 (university) education system to 8 (primary)-4 (secondary)-4 (university, and

     

  • the abolition of the specialization in arts and science but rather pursue a combination of subjects up to degree level

     

“The major aims of education in Uganda haven’t changed since the missionaries came. There is a need to re-think our education system and align it with the changing digital and other societal changes since 1986,” he said.


No respect for knowledge


Kasozi was speaking at the inaugural annual Prof. William Senteza Kajubi memorial lecture at Makerere University main hall.


Prof. Kajubi died in 2012 at the age of 86.


A 1989 report penned by the late Prof. William Senteza Kajubi was crucial for higher education reforms in Uganda. (File photo credit: Samuel Lutwama)

“Abolish the current specialisations into arts on the one side and sciences on the other, until students have completed their first degree. We are proposing that government discourages boarding schools at primary level,” said Kasozi.


‘Re-thinking Uganda’s education system’ was the theme of the lecture, and several professors and educationists in attendance seconded Kasozi’s proposals, which they said, would help re-organise Uganda’s education to the labour market.


The Chancellor of Makerere University, Prof. Mondo Kagonyera also expressed the lack of respect for knowledge as the main reason Ugandans are corrupt.


He called upon government to allow educationists to craft an education policy containing the various reforms as proposed by Kasozi for implementation.

‘Extremely concerned’


Kagonyera also called upon government to revert Kyambogo University into a polytechnic because it has failed as a university.


“I am extremely concerned about the trend which education is taking in this country. It shocks me that we have people in this country who don’t respect knowledge. Why should Government continue to blame Makerere University and other institutions for producing people who cannot create jobs yet they have not told us what kind of people they want us to produce?


“Kyambogo was meant to churn out teachers and technicians but it has failed to be a university. government should revert it to what they were supposed to do.”


The tough-talking Kagonyera however cautioned educationists not to leave education policies to politicians because they are fond of making contradictory pronouncements without carefully thinking of the impact.


He also criticized teachers’ unions for cherry-picking on salary increments rather than raising key education changes that the society needs.


‘People of ideas’


The main discussant of Kasozi’s keynote address, Dr. Ronald Bisaso, the dean of East African School of Higher Education Studies and Development, said that throughout his career as an educationist, the late Senteza Kajubi advocated for changes in the education system – a spirit that government and other stakeholders should embrace.


“People of power need people of ideas. It is a balance advanced countries have come to appreciate,” he said.


The Prof. William Senteza Kajubi memorial lecture, according to Dr. Fred Masagazi Masaazi, the Principal College of Education and External Studies, would be held every year to pay tribute to the renowned educationist.


The fallen professor is the author of the famous Kajubi Report (1989) which set the ball rolling for higher education reforms in the country.


His son, Wasswa Yoweri Kajubi, welcomed the idea of the lecture and also welcomed the proposal by Makerere University to build a lecture theatre and a foundation in memory of his father.


The lecture was attended by a number of dignitaries, including the Vice Chancellor of Makerere Prof. John Ddumba Ssentamu, former Prime Minister Prof. Apolo Nsibambi, the Minister of Finance, Planning and Economic Development Maria Kiwanuka, the Auditor General John Muwanga, former Education and Sports minister Geraldine Namirembe Bitamazire, ex-DP president Paul Kawanga Ssemogerere among others.

Just after the concluded national election a Buhweju Member of Parliament is prominsing better times for a dilapidated school in the Western Province of Uganda.

Buhweju MP Francis Mwijukye addresses students studying in a dilapidated classroom at Karungu Seed Secondary School in Buhweju District at the weekend. PHOTO BY ZADOCK AMANYISA

By  Zadock Amanyisa


Posted  Tuesday, June 28   2016

Buhweju- Buhweju County Member of Parliament Francis Mwijukye has teamed up with teachers and parents to demand an immediate inquiry into a dilapidated school bought by government six years ago.

The legislator, after inspecting Karungu Seed Secondary School in Ntoboora B Cell, Buhweju District, in a meeting with students, parents and teachers called for calm but promised to officially petition the ministry of Education and Parliament to ensure the matter is investigated.

The school is in a sorry state and a threat to the students amid fear that it might collapse on them. The school was bought by government from eight private developers in 2010 at Shs370 million.

Mr Mwijukye told Daily Monitor at the weekend that the cost of the school is also suspicious.

“I went to the school and found students doing exams under the tree. They told me they had run away from the collapsing buildings but were advised to do exams under the tree,” he said.

The legislator wants government to order for a value-for-money audit to establish the actual cost of the school and also explain why taxi payers’ money was spent on the old building.

He warned that he will not give officials the liberty to ‘play with” the findings of the investigations since all the stakeholders, including the entire community, want an explanation.

“Ministers swear in to serve people and this is the time for the Education minister to start working and deliver. She should visit the school and establish the value for money. Procedures and necessary steps should be followed to help the suffering students and parents at the school,” the legislator said.

It is reported that Karungu Seed SS was sold to government between 2008 and 2010 but the valuers took photos of a different school to inflate the value of the school and rip-off government.

The school was started in 1999 by eight private developers. Government bought it in 2010 as part of the national plan to establish a secondary school in every sub-county.

The transaction was entered and made by the school directors, including Mr Lawrence Kamukama, Augustus Abenaitwe, Isaac Rubafunya, Vincent Gumisiriza, Evadio Katsigazi and Expedito Rukundo, then commissioner for secondary education in the ministry of Education John Agaba, Bushenyi District chief administrative officer Charles Kiberu and District Education Officer Norman Rukumu.

Pictures of a different school, believed to be Kitagata Secondary School in the neighboring Sheema District with better infrastructure, were taken and presented as purported representation of Karungu Seed SS. Government then bought the school at an apparent inflated valuation, which led to the ministry neglecting the school after finding out the rip-off.

The school had more than 450 students at the time of government takeover but the enrollment has dropped to below 300 due to the poor conditions. Stakeholders in the sub-county have petitioned several authorities but to no avail.

editorial@ug.

nationmedia.com

 

OBUKULEMBEZE BW'ENSI BUGANDA

 

Ekitabo kino: OBUKULEMBEZE BWA BUGANDA, kitandise okutundibwa mu bitundu by'ensi ya Buganda nga kilambika bulungi ekifo kya Buganda  wakati wobufuzi bwa M7 obwa Uganda obwe myaka 30.

 

Kiwandiikiddwa Olukiiko lw'Abazzukulu b'Abataka b'Obwakabaka bwa Buganda.

 

 

Posted: 05 August 2016

ENSALO Z'ENSI YA BUGANDA WAKATI MUNSI YA CONTINENT ENENE EY'AFRICA.

 

 

 

OMUZZUKULU OMUTO OWA BUGANDA OMUTABAAZI MU LUTALO E LUWERO 1980-1986:

16th August 2016

Manuel Matovu, e Kitungwa, Luwero Triangle War Zone 1980/86

 

Kitange ye Mwami Charles Iga. Jjajja ye Kamoga. Yasalamuka bukulu yali Christoper Kamoga. Tubeera ku Kyaalo Kitungwa, e Kyadondo. Ggwali mwaka 1982 awo nga wakati womwaka ogwo netulekayo okusoma e Kitungwa Memorial School nga nina emyaka 13 gyokka.

Kusomero batugamba okudayo awaka kubanga olutalo lwali lutandise mukitundu kyaffe.

Twadda eka netulima nga bwetunoga emwanyi okuyamba kubazadde baffe. Twali tukyali awo abaserikale ba government ya Uganda nebajja nga bali mu lorry ya TATA. Ente 10 ne nyana 4 mukiraalo kyaffe nezirugenda. Tebalina bulabe bwebatukola mukiseera ekyo. Bagoba ente nyingi ddala mu byalo bingi mukitundu kyaffe nebazitwala.

Twasalawo okusenguka netugenda e Kanyanda nga tubiwulidde ko nti wewaali camp eyabanonya obubudamo. Twazimba obusisira obwokusulamu ne bazadde baffe.

Twagenda nga mu byalo okusaka emmere. Ebyalo byali: Ebuwazi, Kalasa, Wabiyinja nebirala kubanga mu camp mwetwali emmere teyaliyo. Twaleeta nga emmere netulya wamu nabazadde baffe. Nga omwezi guyisewo lorry za TATA zakomawo nga zijjude abasirikale ba government. Batandiika okunonyamu Abayeekera bebaali balwanyisa nga balowooza nti baali bekwese mu camp zino. Basinga kutwaala abavubuka emyaka 17- 19 nze nebandeka kubanga nali muto (KADOGO) (mutoto kidogo)

Batwaala Abawala emyaka 17-18 nga nemwanyinaze omukulu Nabukeera teyalutonda. Naguno gujjwa yabula. Banyinaze nga Nalubega, Nayiga ne Nakacwa kumyaka 8-10 Maama wange yabasigaza nga ddala bato nyo.

Wayita emyezi 2 aba Red Cross nebatusanga e Semuto mu bifulukwa gyetwali tudukidde nga nayo olutalo lwaali lunyinyitidde. Batuwa Biscuits, amazzi gokunywa, Blankets, ne Ngoye zokwambala anti nga zetwalina zaali zikutuse.  Aba Red Cross basobola nga okuyita ku baserikale ba government ya Uganda bo abaali bamaliridde okunoonya nokukwata abayeekera buli kiseera.

Omwezi nga guyiseewo abayeekera bajja okutukyalira  nga bambadde engoye eza leeya. Balondamu abavubuka abe myaka 13-20 abaali basobodde okwekweka abaserikale ba government ya Uganda. Nange saluwona kuluno.

Twatwalibwa mu Camp yabayekera bano e GARAMBA miles nga 8. Twali ebibinja 4 nga buli kibinja abavubuka baali 18.

Enkeera twatandiikirawo drill, okuzimba obusisira, okufumba emmere, okunaaba kumpi no luzzi olwaliwo okumpi ne camp.

Mu camp eno twasangamu abantu abakulu bangi ddala: nga Mukyala Zizinga, Mukyala Proscovia Nalweyiso, Mr Semanda (Ono yekuba emundu oluvanyuma enyo nga obulwadde bumwetamizza ensi eno!) Mukyala Najemba, Mukyala Nabukenya,  Mr Tekirya- Omunyankole, Mr Sunday Biseegusi, Mr Kawooya, Mr Kituuse, Mr Ssekajja, nabalala bangi nyo ddala.

Oluvanyuma twakyuusa Camp netutwalibwa e Kapeka miles 8 okuva wano e Garamba mu ka saawe ke Kasejere.

Twatema emiti  okukozesa ku drill eyokutabaala entalo nga gifanana: AK47.

 

Eno ye mundu AK 47 gyetwayigirizibwa okukuba sabbawa mu kyalo.

 

 

Buli kumakya. Up--up-up-kuliya gewuka--kata--kanyaga. Olwo nga mpezeza emyaka 14 oba 13 nekitundu.

Mukyala Proscovia Nalweyiso mubiseera bino.

 

Twazukuka nga: 6.00 a.m kumakya netugenda mu kisaawe netutandiikirawo oku training. Ssawa: 10.00 a.m netuwumulamu netunywa obuuji ne muwogo omufumbe. Ne tunywa amazzi mu luzzi nga tetugafumba. Olulimi twali twogera Luganda nga ffenna lwetutegeera.

Ku ssawa 1.00 pm netunyuka AMAFUNZO. Netudda awaka mubusisira bwaffe obwesubi. Twanyumyanga mu bwaama, mukasirise.

Emyezi 6 nga tuli bwetutyo awo e Kapeka:

Abavubuka emyaka 17-18 ate Abakazi na Basajja emyaka 35-50.

Kumakya nakawungezi nga kukuba drill.

Mu camp zino twali nga ba private abali awo abawulize eri abakulu baffe. Twali tetuddamu bakulu. Nga tukuba ngato zaabwe.

Ekyeggulo twakiryanga ssawa 5pm. Olwamalanga okulya ekyeggulo netugenda OKULEKINGA (checking) okulawuna, okwetegereza omulabe kyayinza okubeerako. Nga tugamba nti lunaba lumu omulabe natugwaako nga tetutegedde. Natwanganga amangu ago. Obudde nga buzibidde ddala netudda munsisira zaffe netwebaka kutulo. Kumakya agamu twakeera nga netufuna order okunoonya emmere. Twasiba nga abalimi abaali tebadduse mubibanja byabwe ku miti singa bagana nga okutuwa emmere. Twabajja ngako  enkoko, emmere netutema ne tusima. Amasefuliya twagayita nga (Goodiliya) amagulu asatu. Twafumbira nga kunku. Okulya nga tulira wamu ku saniya eza Plastic. Oluvanyuma netuzooza awo kumpi noluzzi olwali okumpi .

Obulamu buno newankubadde nga bwalabika nga bwamirembe, mubyalo mwalabikanga mu abatuuze abatakwatibwako baserikale ba government. Mubano mwavangamu abatuketa. Twa batuuma: BAPINGAMIZI.

Kyali kyanaku nga tulina okubalumba. Baleetebwa mu camp. Omusango bwegwabasinga batekebwanga okusima ekinya. Banaffe bakwatanga akakumbi (AKAFUNI) nebakakuba kunkoona yo mutwe gwomulabe ono nga asitamye ku kinya. Yagwa nga mukinya nga mufu nomusai gwonna. Yazikibwanga bwatyo. Oluusi ekinya kyali nga mu kisswa ekyenkuyege. Nazikibwa omwo. Abantu abattibwa bwebatyo nalaba nga 30. Buli week nga abasajja 5 battibwa. Temwali bakazi. Abakazi baali batitiizi nyo ku kyokufa kwobulamu. Lyo Ekomera nawulira ko nti lyali Kanyanda ate nerida e Buwazi.

Abavubuka bangi battibwa kubanga government yabawa nga sente okugula emmere, gumboots nebirala bingi.

Waliwo eddwaliro era nga Dr Kizza Besigye yalikulira. Bagabanga eddagala nga bwebakebera abantu obulamu bwabwe. Kubanga ngenda okutuuka emyaka 14 nga Omusawo ono mulaba nemimwa gye emimyufu nobuddugavu bwe mumaaso.

Major Kanuraanamwana ye yasalanga emisango gyokutta abalidde munsi olukwe.

Abafumbi baali bawerera ddala nga 10.

Abakyala baava nga munsisira zabwe nebayamba okuwaata nokutegeka ku mmere oluvanyuma nebadayo. Emmere yali ya muwogo, amatooke, lumonde. Enva za doodo.

Twayiga okukuba emmundu (ssabbawa) okuteeba. Twayigirizibwa okuzipanga, okuzilongoosa ne oil, nokuzipangulula.

Mukyala Nalweyiso yalalika nga nyo bakyala banne obutafuna mbuto. Era nkikakasa nga ne Dr Besigye mu nzijjanjaba ye embuto zino yaziyimiriza nga. Naye no nga bwekisoba omukazi namala afuna olubuto nga agobwa mu lutalo natindigga olugendo olumuza ewabwe.

Twali tukyali awo obudde bwe ggulo ssawa 5pm, Lorry zekika kya TATA nezituuka nga zijjudde abaserikale ba government. Twadduka kubanga abaserikale baali bangi nyo ddala ffe okusobola okubanganga. Bwetwatuuka kunsozi netukuba ku mundu naye nga busa. Ate no nga nobudde buzibidde ddala.

Twadduka e Singo. Twatambula ekiro kyona nga bwetuwumula kubanga abalabe batya okutambula ku budde obuzibye.

Twasanga abamawanga agenjawulo mubitundu ebyo. Oba be baluulu. Simanyi.

Naye nga bwetwali twetaaga emmere nabo twabasiba nga ku miti netubajjako emmere gyetwali twetaaga. Twakola camp netugituuma LUTTAMAGUZI. Museveni  mu camp zino twamwekanga bwekanzi. Ate nabulawo. Nze okumulabako nga maze kuweza emyaka 15. E Singo era nayo twafunayo akasawe era netutandika okukola drill ne training nga bulijo.

Twagenda okutuuka e Singo nga tuweze abantu bangi ddala. Kubanga bonna abaali besigaza mu byalo nga bekwese olutalo mungeri zaabwe badduka naffe.

Abaserikale ba government batta abantu bangi nensisira zaffe zonna nebazokya. Balina obusungu bungi ddala.

Twasindikibwa e Bunyoro miles 12 okuva awo e Singo. Tetwalina Uniform za magye. Engoye twatambulira nga mu zaleeya (civilian) ne ngato.

Ewabinyira, kumpi ne Singo twaweebwa ku ngato za Gumboots nga mpya. Twali tuli awo nebatuwa ne Uniform eya magye nga yabibomboola. Emundu 30 bazituwa ekika kya ASR naye nga tuli abasajja 70. Kulusozi Kanziira e Bunyoro olusozi luno lwali luzibu ddala okuluwalampa. Twayambuka nga bwetukuba amasasi wansi wolusozi eyali abalabe. Order yali egamba. Bwemutuuka kuntiko yo Lusozi omulabe alina okuwerezebwa amasasi wansi attibwe. Wano twakuba camp nga bwetulingiriza omulabe. Ekiro bafa nyo nga bagala nyo okulaba amanyi go muyeekera genkana wa. Twamala e Bunyoro emyezi ena nga abaserikale ba government batutawanya. Tweyongerayo kulugudo lwebayita Mityana. Wano tweyawulamu A-coy, ne B-coy. Nze nali mu B-coy, commanding officer nga ye Katende. Twatuka mu kifo kyebaita Katende ne tuwumulamu. Okuva e Katende twagenda okulaba nga lorry ekika kya TATA double diffe etuuse. Twagwa cover netwanganga omulabe. Kuluno tetwadduka. Twayimirirawo. Twatta bonna nga 42. Tweddizza emundu zaabwe. Twafuna SMG:submachine gun, LMG:  machine gun ne RPG: rotational proppelled grenade. Twafuna amanyi ne tukuba nyo abalabe netufuna cigarettes, biscuits, tinned beef, amazzi ne sente abaserikale byebalina.

Abaserikale ba government abawanika nga bendera enjeru nga amateeka gentalo bwegali twabatta nga. Kubanga nga ffe abatambula nga tetulina kkommera lyabwe wakubateeka.

Brigadier Kasajja yawa ekiragiro nti tewali kuddamu kwokya lorry za TATA kubanga obwetavu bwazo bwaliwo. Lorry nga 12 zenawulira ko nga zezakwatibwa mungeri eyo kuzetoloola buli ludda abaserikale ne ba dereva nebabuna emiwabu.

Twalina signals zetwakozesanga kubanga twagenda okulaba nga tusisinkanye ne banaffe abebibinja ebirala bingi. Awo no nga tusemberedde Katonga mu Kitoogo(wetlands). Abaserikale ba government nabo baali bakalambidde nyo nga baleese Abanyanya. Twamalawo ekiseera kya myezi 2. Netwokya ne Kitoogo ekya Katonga nga bwetuyimba: Sasa tunawerekeya mwiso ya mapamaano(Tunatera okuwerekera olutalo okulutuusa)

Sijja kubamalirayo enkomerero yo lutalo lwe Luwero mubyalo byaffe ebyabonabona enyo nga bwenjogedde ko waggulu. Sagala kwewaana kubanga bangi kumwe mwalulimu nga abalwanyi baalwo ate nabalala mwalulimu nga ba civilians ababonabona enyo.

Ffenna buli omu alina bweyalulabamu. Betwalwanyisa nga abalabe baffe bangi ddala tukkyaali nabo ebiro bino kakati emyaka 36.

 

 

Olutalo musi telwetaaga kwewaniramu. Kintu kya bulabe obutagambika. Olutalo lwonona ensi nobugagga bwayo. Abaana, Abakyala n'Abaami bafa. Olutalo luteeka amabega enkula kulana yensi.

 

Amangu ddala nga olutalo luwedde, Kojja Major Tekirya Tolonto yantwala e Mubende Casualty Barracks kubanga nali nina ebiwundu byolutalo. Najjanjabibwa emyezi 6 era ne mpona.

Nasindikibwa e Bombo barracks nentandiika okukola omwaka gumu.

Mu mwaka 1988 netamwa obusirikale nga mukujjukira enyo nalina emyaka 18 egyobukulu.

Bakama baffe e Bombo (ba Affande)(oba okuwa muwa) to give order mwalimu Mukyala Nalweyiso, Mukayala Zizinga, Mukyala Namusisi, ne Kojja Tekirya. Okusinga bo bano twabalaba nga nyo kunkomerero ya mwezi nga bakimye musaala ate nebadda awaka wabwe.

Nasaba Commander Katende nakiriza okumpumuza nga agamba nti ng'omwaana omuto nali nina okuwumula.

Nagenda Ekitungwa ewabazadde bange naye nga Kitungwa yali alabika bubi nyo. Amabati ge nyumba tekwali kunyumbaya Taata. Okujjako emmere ya Muwogo, ebisimbe bye mmere endala tewaali awamu ne bisolo. Amakubo gaali gazise.

Amaka ga balirwaana nga bifulukwa byerere. Awokutandikira  obulamu nga ddala sirina nze eyalina emyaka 18 egyobukulu, alekulidde amagye amanunuzi aga Buganda. Nze ne Taata twakubirira obusisira awo kusula era netukwata enkumbi ze twagula mumadduuka ge Bombo ne Matugga netutandiika okulima.

 

Obuwanga bwabafu bwo ddala bwaali bungi nyo:

Nga M7 amaze akulayira kku bwa President bwa Uganda era nga wayise ekiseera nga afuga, governmenti ye yalangirira okukunganya obuwangwa buno bwonna. Lorry za magye ne ziyita mu byaalo nga zikunganya obuwangwa buno.

Omukulembeze wa Bayekera e Buganda, Kaguta Museveni nga alayira ku bwa President bwa Uganda, 1986.

 

Bungi twabuziika awo ku Gombolola lye Gombe. Awalala Sambuwe ku kasaawe ke Sommero.  Awalala kusomero lye Ndejje kukubo. Awalala Sanga nga ova e Matugga. Awalala Migadde nawo waziikibwawo obuwanga. Emyezi gyawerera ddala ebiri. Obuwangwa nga 700 buli luziika. Ate nga ne President  Yoweri Kaguta Museveni yabeerangawo nateeka nebiwandiiko kuntaana zino. Emizinga gyakubwanga ne Serumbeti nezikuba.

 

Nafuna omukazi netuzaala abaana 5 babiri ne bafa. Endabirira mubyobusawo nga tewali  okujjako okukozesa eddagala lyo bwabajjajja baffe.

Kojja Tekirya yafangayo nyo okutukyalira era natuleterangayo aka sente, akawunga ka soya, engoye enkadde ezabaana nabakulu, eddaggala, amata gobuwunga olwabaana.

Mukulu Kasirye, omusomesa wa masomero yali mulimi era nga mulunzi. Yalima nga kalituusi nentandiika nga okumukolera ku kibanja kye kumpi ne Kitungwa. Awo we yanzija nantwala ku kibuga e Kampala, wano e Nammere. Namulundira ente ze era neziwera. Yampa nga omusaala. Sente zino nenziwereza abomuka. Emyaka 6 nengiweza nga mpakasa bwentyo.

Kibi nti oluvanyuma Farm ya Mukulu Kasirye  yagwa. Motoka ye najitunda eyali emuyamba enyo mubulunzi bwebisolo bye kukibuga. Naddayo  mukyalo e Kitungwa nenima. Natema kumputa okusobola okubeezawo amaka.

Emyaka gyawera 2 obusuubuzi bwe mputa bwatandiika okutabuka. Omusana gwayaka nyo negutta ebirime. Ebiwuka nebirya kayinja, emwanyi, nebitooke.

Pressure neyitirira kwekukomawo kukibuga kye Kampala. Natuukira e Namere nate.  Nalabirira enyumba ya Mukulu Kazibwe emyaka 4. Nawerezanga mukyala wange  nabaana sente okutuusa enyumba Mwami Kazibwe lweyagyediza nga amaliriza safari ze zeyakolanga.

Oluvanyuma nensenga ewa Mugenzi Mutumba awo era e Nammere. Nkumye enyumba eno nga bwenkola nemirimu gyange nga bwemba nsobodde. Oluusi kukimira balirwanwa amazzi nokulima compounds zabwe kakati emyaka 4.

 

Nina obuzibu bungi ddala kubanga sente zenfuna kukibuga tezimala okusobola okuwerezaako abomumaka.

Omukyala wange yabisibako awaka wa Taata nadda ewaabwe kubuttaka bwabazadde be.

 

Nb

Njagala okukubira omulanga eri betwazirwaanako bonna nti, baagalwa banange, munyambe mumpereze kubuyambi naye ddala siri bulungi nakamu. Sirina ssimu ndi wano e Nammere mu maduuka. Obuuza ewa Mukyala Dina.

 

 

 

Eyabajja emmundu ezaayambako NRM okulwana n'ewamba obuyinza kati yeerya nkuta
By Musasi wa Bukedde
Added 4th August 2016

ISMAIL Ssemmambo (RO/2498) eyazirwanako y'omu ku bakubi ba ssabbaawa 21, Pulezidenti Museveni ng'akyali muyeekera be yatendeka okuwamba obuyinza. Ono obuyeekera yabuyingira ku myaka 16 wabula kati alaajana lwa kwerabirwa.

Agamba nti ye yekka eyabajja emmundu ezaayambako NRM okulwana naye kati yeerya nkuta.
Ssemmambo agamba olutalo lw'okuleeta Museveni mu buyinza yaluyingira yaakatuula P7, n’asimattuka okufa enfunda eziwera.

                                                           Ismail Ssemambo nga bwali ebiro bino

 

NNYINGIRA AMAGYE
Nzaalibwa Bulingwe mu muluka gw'e Kagogo mu ggombolola ye Makulubita e Luweero. Bwe nnali nsoma mu Buligwe P/s gye natuulira P7 mu 1981, olutalo lwa NRM ne lubalukawo okulwanyisa gavumenti ya Obote Museveni gye yali alumiriza okubba obululu mu kulonda kwa 1980.
Amagye ga Obote gattanga nnyo abantu mu kitundu kyaffe ng'okugenda ku ssomero kizibu era ne nkoma mu P7.
Ebiseera ebyo kitange omugenzi Ahamed Kakembo yalina enkolagana ne Museveni era kitange yafi ira mu lutalo luno mu 1983, yabuzibwawo basajja ba Obote n'okutuusa kati tetuddangamu kumulabako.
Mu buyeekera taata yampaayo ne muto wange Muhammad Lukoda eyalina emyaka 14 naye eyafi irayo.
Nga twegatta ku Museveni, taata yamala kutulaga Obote bwe yali omubi ennyo n’abantu be yali atta.
OKUKUBA SSABBAAWA
Mu lutalo, Museveni yatendeka abakuba ssabbaawa 21, nange mwe nnali era omulimu gwaffe omukulu gwali gwa kubega magye ga Obote ekiro n'emisana, okubatega bbomu ssaako okubakuba (okubatta) era n'okutwalira mukama waffe Museveni amawulire agafa mu nkambi ya Obote.
Nze nateganga bbomu eza ‘land mine’, ezitegwa mu ttaka, era zino Museveni ye yazinjigiriza Kitange yali musajja mubazzi, yalina obukyayi bungi nnyo ku Obote kale olw’obukyayi obwo nange nafuna obuvumu obumulwanyisa.
Twalina ebyokulwanyisa bitono, we waava okukozesa amagezi taata ge yalina ag’obubazzi okuyiiya emmundu ku myaka 17 mu 1983. Nze naweesa emmundu 40 nga zikuba essasi limu limu, zaali za mbaawo, nakozesa ebyuma bya payipu.
Emmundu zino zaasanyusa nnyo abatuuze ne Museveni era twazikozesa mu lutalo okulwanyisa abalabe. Museveni yatuwaayo emmundu enzungu nnya (4) ne tukozesa ne ku zino ezange, olwo nga tuli mu nkambi y’e Kasiringi.
Nzijukira amagye ga Obote lwe gajja ewaffe e Bulingwe. Bwe baatuuka eka, nze ne muto wange Lukoda twali tusuze ku muti ogwali emmanju.
Abajaasi ba Obote baakuba amasasi mu nnyumba yonna, naffe ne tubakubamu amasasi ana, naye ne tusimattuka ne tudduka.
Ndi omu ku baawamba enkambi y’e Fort Portal, Kasese, Mbarara, Nakasongola, Masaka era ebiseera ebyo nnali nduumirwa Gen. Salim Saleh.
Ndi omu ku bayeekera abaanunula omukulu omu eyali awambiddwa e Rwakitura, amagye ga Gen. Tito Okello Lutwa bwe baazingako ekyalo.
Waaliwo akaseera k'okussa wansi ebyokulwnayisa wakati wa Museveni ne Lutwa, kyokka basajja ba Lutwa baakozesa akakisa ako, nga ne Museveni ali Nairobi ne bawamba omunene omu ku kyalo kye oluvannyuma gwe twanunula.
Olunaku olwo lwe lumu lwe twalumba bbanka e Kabale ne tuggyamu ssente. Kino kyatanula olutalo ne luddamu buto era ku luno tetwadda mabega okutuusa bwe twawamba mu 1986. Nze ekibinja kye nalimu kyalimu Paul Kagame, Fred Rwigyema ne Chefe Ali nga tusinziira Kasese.
NSIGALA MU NSIKO
Oluvannyuma lw'okuwamba, mu nsiko nasigalayo era nze omu ku baalwanyisa abayeekera Alice Lakwena ne Joseph Kony ne tubamalawo nga tuduumirwa Gen David Tinyefuza nga nze nkulira ebikwekweto mu ‘9th Battalion’.
Mu 1992 nannyuka amagye g'eggwanga naye ekyasinga okunnyiiza okugavaamu nga buli bwe bagaba ebitiibwa n'emidaali okukuza abajaasi abaalwana nga nze bandeka bbali. Baali bansuubiza dda okufuna ekitiibwa kya Major naye ssaakifuna.
Nze eyafiirwa famire yange, naye abalala nga babayisaawo! Nnali mmanyi nti bwe tunaawamba nange ndijjukirwa naye si bwe kiri.
Kinnuma okuba nti nze sifunangayo wadde omudaali ogumu bwe guti ate nga nalwana era naweesaako ne ku byokulwanyisa bye twakozesa, waakiri bandinsiimye olw'ekyo. Nasemba okusisinkana Pulezidenti Museveni mu 1988 n'abakulu abalala. Ne ku olwo ssaafuna mukisa kwogerako naye mu buntu.
EMIRIMU GYANGE
Bwe nava mu magye, natandika emirimu gyange egy'obusuubuzi nga ntunda ebintu ebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo.
Natandikawo ne kkampuni eyambako mu kuzimba era emirimu gyange nagitwala e South Sudan mu 2008 gye nnali nkolera ne kkampuni ya ESP International.
Kyokka nayo, kkampuni eno yeekobaana n'abamu ku banene mu Uganda mu 2011 ne banyaga ebintu byange ebikozesebwa omwali ebyuma, kompyuta ne ssente enkalu ebibalirirwamu obukadde bwa doola munaana.
Amagye g'omunda e S. Sudan gankomyawo e Uganda ne bandeeta ewa Gen. Salim Saleh gye mbeera kati .
Ab’e South Sudan osanga baali balowooza nti nja kubalwanyisa nga ngaggawadde, sso nga nange nali njagala kuba bulungi.
NDABYE ENNAKU
Ebizibu bingi bye nsanze ewa Gen. Saleh okuva mu 2011 bwe natandika okubeerayo, nkola emirimu naye sisasulwa ate bwe bansasula bampa ssente ntono ezitagya mu mirimu gye nkoze.
Ngezezzaako okuwandiikira Pulezidenti Museveni ne Pulezidenti Kagame owa Rwanda kuba bwe twali mu nsiko naye simanyi oba amabaluwa tegatuuka kuba sifunanga kuddibwamu. Sirina maka gange, nsula mu muzigo omupangise, mukama wange omu yansuubiza okunzimbira ennyumba naye n'okutuusa kati sigirabanga!
Brig. Elly Kayanja nga August 28, 2013 yawandiikira minisita avunaanyizibwa ku butebenkevu ayambe Ssemmambo naye n’okutuusa kati tekikolebwanga.

Nb

Tulina abaana bangi abaali basoma emyaka 12-17 abatwalibwa mu ntalo 1980. Kimenya mateeka ga Ntalo ezokwetaasa munsi yonna. Kattikiro wa Buganda alina okuvayo kunsonga eno amanyise Abaganda Lwaki Abaana ba Buganda balina obulumi bwebuti. Wakyaliwo abayikuzi bentalo abakyayagala gasiya we ngeri zino ezentalo ezifiriza Buganda buli kadde zikomewo. Abaganda tuffe, tuffirwe nebyaffe. Ensi Buganda efuuke muyiggo, namunyago. Abefunira nga befunira!