Kabaka akyusizza ennyimba y'ekitiibwa kya Buganda

By Dickson Kulumba

Added 31st January 2017

 

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II asiimye era n'akakasa ennyimba enaagobererwanga mu kuyimba Ekitiibwa kya Buganda ng'eyawuddwamu ebiti bisatu.

 

 

Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ng'awuubira Obuganda. EKIF: DICKSON KULUMBA

 

Ennyimba esooka; ebitundu by'oluyimba luno ebitaano byakumalibwangayo ku mikolo okuli okujjukira Amatikkira ga Kabaka, okuggulawo olukiiko lwa Buganda n'okukuza Amazaalibwa ga Kabaka.

 

Bino byayanjuddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe yabadde alambulira Obuganda ebigenda mu maaso nga yasinzidde mu Lukiiko lwa Buganda olwatudde ku Mmande ya wiiki eno January 30, 2017 e Bulange - Mmengo.

Mayiga yagambye nti ennyimba eyookubiri mwe muli emikolo okuyimbirwa ebitundu bisatu: ekisooka, ekyokuna n'ekyokutaano nga gyegyo Kabaka gy'alabikako ng'oggyeeko egimenyeddwa waggulu.

 

Ate ennyimba eyookusatu y'enaaberanga ku mikolo emirala gyonna egya Buganda nga gya kuyimbirwangako ebitundu bibiri nga gitandika; Ekisooka (Okuva edda n'edda…) n'ekyokuna (Nze nnaayimba ntya ne sitenda….) ate mu kuggalawo, ekitundu ekisembayo ( Katonda omulungi ow'ekisa…), kiyimbibwenga.

Mu ngeri y'emu, Mayiga yagambye nti omwaka guno Obwakabaka bugenda kuteeka amaanyi mu bulimu bw'emmwanyi mu ηηombo etuumiddwa  'EMMWANYI TERIMBA'.

" Omwaka guno tuluubirira okusimba endokwa obukadde butaano.

 

Nb

Ffe nga Abaganda abanyumirwa okuyimbira ensi nyaffe oluyimba tujja kusigala nga tuyimba nga bwetusobodde ebitundu byonna ebyoluyimba lwe ggwanga lyaffe Buganda. Kumikolo egiwera wano e Buganda a baganda banaffe Abakungu nga ne Bakatikkiro, Abalangira, Nabambejja mwobatadde batono ddala abayimba oluyimba lweggwanga mubantu bebakulembera. Balinga ne Queen wa Bungereza atayimba nako oluyimba olweggwanga lye erya Bungereza. Asirika be che baserikale be nebamuyimbira ko!

 

 

 EKIKA

 

 

NKIMA

 

Onomulaba Ebitumbwe

 

 

Bwobeera ggwe bwakwatula

 

 

Okyakyankya

 

 

Talya nkima-takombako

 

 

Talya dduma

 

 

Senya enku- Twokye enyama

 

 

Mugema bwafa

Kudda mulala

 

 

Tweddira nkima

 

Kabbiro-kamukukulu

 

 

 

Ono witch doctor ate nga akulira eddini e Bujagali munsi ye Busoga, Uganda aziikiddwa mu matumbibudde

 

By Musasi wa Bukedde

 

Added 6th November 2019

 

AB’ENZIKIRIZA y’Abaswezi mu Busoga bakoze obulombolombo ku mulambo gwa jjajjaabwe Nabamba Bujagali mu kuziika kwe okwabaddewo mu matumbibudde.

Omulambo gwe baabadde bazinze mu lubugo baagufulumizza ennyumba ku ssaawa 8:00 zennyini ez’ekiro. Baagusitudde nga bayisaawo akaseera ne baguwummuzaamu olwo ne bayimba. Kino baakikoze okumala eddakiika ng’asatu ne balyoka bamuziika.

 

Abacwezi n’abaziisi abalala babadde baakungaanira mu maka g’omugenzi ku kyalo Bujagali mu ggombolola y’e Budondo mu disitulikiti y’e Jinja ku Ssande. Baamuziise mu kiro ekyakeesezza Mmande.

Waasoose kubeerawo okusabira omwoyo gw’omugenzi emisana nga kwetabiddwaamu bannabyabufuzi, abakozi ba gavumenti n’abakungu okuva mu Bwakyabazinga bwa Busoga abaakulembeddwa Katuukiro wa Busoga, Dr. Joseph Muvawala.

 

Engoma zaasiibye zisindogoma n’ekiro okuva ku ssaawa emu n’okweyongerayo era bwe zaakoonye essaawa 8:00 ez’ekiro, Abaswezi ne bongeramu engoma era abaabadde beebase ne basituka olwo ne bafulumya omulambo gwa Bujagali okuva mu nnyumba ye.

Abalala baabadde bakutte ebiso ne bakola obulombolombo bwabwe okwabadde okwecanga n’okuzina okwetooloola omulambo n’okwerula ekkubo mwe baabadde bagenda okuguyisa okutuuka ku ntaana.

Abaabadde bagusitudde kwabaddeko Abacwezi abasajja n’abakazi nga bonna ebifuba babitadde

Bwe baatuuse ku ntaana, abacwezi nga bakulemberwa Waiswa Muyiri ne Ibanda Nasser beetoolodde entaana eyabadde ebikkiddwaako olubugo era baalubikkudde olwo ne bamuziika.

Wano abakungubazi baalabiddwa nga bakutte ebiso nga bafukamidde okwetooloola entaana nga babiwanika mu bbanga n’okubifumita mu bbanga.

 

 

Olwamaze okuziika, engoma n’amazina g’Abacwezi ne biddamu okutuusa ku makya.

OKUSABA KW’EMISANA

Okusaba kuno kwakulembeddwamu Ssaabakabona Jumba Lubowa Aligaweesa nga ano y’akulembera enzikiriza ya ba ‘Tondism’ era yabadde ne mukyala we Ssenga Kulanama.

Mu kusooka waabaddewo okusika omuguwa wakati w’abagoberezi ba Ssaabakabona n’aba Ssaabakkiriza Ssaalongo Mukasa Mutyaba ku ani anaakulembera okuwonga omwoyo gwa Bujagali era nga Mutyaba n’abagoberezi be baabalemesezza ne bakkakkana.

Aligaweesa ye yasoose okuyingirawo n’abagoberezi n’atuula mu weema ne Kulanama n’ayingirawo ng’akulembeddwa abazaana be babiri nga bakutte ekipande ekiriko obubaka obusiibula Bujagali.

Bwe waayiseewo akaseera, Mutyaba naye nga anekedde mu byambalo bye n’ajja kyokka nga atambulira ku mikeeka, embugo ne leesu ze baabadde bamwaliridde okutambulirako era yatuuziddwa mu weema endala.

Abalala abeetabye ku mukolo guno kwabaddeko Katukiro wa Busoga Dr. Joseph Muvawala, baminisita ba Busoga okwabadde Mafumo, Ntange ne Wakalali, Salaamu Musumba owa FDC, minisita Moses Kizige eyawaddeyo obukadde 10 ez’amabugo, Kasaijja Agwanga Valentine n’abalala bangi.

Nb

Owange, bano bakambwe nyo, kyelaga kyokka nga Omuzungu Angalican Bishop Hove James Hannington eyazalibwa nga 3 September, 1847 ate Abasoga nebamutta nga 29 October 1885 kunzikiriza nga zino ezetabiddwamu Abacwezi Nabasoga(Bakanywa musayi). Yali taluwona. Ate kibi nti abamutta nebawayiriza Ssekabaka Mwanga nti nga bweyali atta abamulyamu olukwe wano e Buganda mu myaka egyo, nti ye yeyabalagira okutta Omuzungu ono eyali awezzeza emyaka 38 egyobukulu! Bamutematema ebiso nebijambiya awamu nabaana Abasoga, beyali ayigiriza okukkiriza Obu Christayo mubitundu byensi ye Busoga. Kitalo nyo.

Filter:

Latest Posts

OKUBONABONA KWA BAANA MU NSI UGANDA

Posted on 8th August, 2015

Babbye omwana ne bamusibira mu bookisi y'ennyaanya:

 

Bya Musasi wa Bukedde

 

Added 10th October 2016

 

 

Bya MADINAH NALWANGA

 

EBWEYOGERERE – Kirinnya, abasajja babiri babakutte n’omwana omubbe.

 

Omwaana Babirye ne Nyina(left) ate Musa Tibiita (35) ne Tom Egesa (18) (right)              

 

Abatuuze bano b’e Kirinnya Namataba be bakwatiddwa nga bakukumye omwana , Betty Babirye (4 ) mu bookisi y’ennyaanya nga bagibisseeko ebipapula mu nnyumba.

Omu mu bato banne bwe babadde bazannya y’alabudde nnyina, Deziranta Nalwadde, abadde anoonya Babirye n’amugamba nti waliyo omusajja amusise ku mukono n’amuyingiza mu nnyumba.

Nalwadda ng’ali n’abatuuze bakonkonye ku nnyumba ya Tibiita kyokka n’agaana okuggulawo, ekibawalirizza okukuba enduulu abantu ne bongera okukung’aana ne basamba oluggi ne bayingira munda ne bagwa ku mwana ng’apakiddwa mu kibookisi okukira ennyaanya!.

Amangu ddala, Poliisi y’e Kirinnya eyingiddewo ne bataasa Tibiita ne Egesa ku batuuze ababadde bataamye obugo nga baagala kubamiza musu.

Bombi batwaliddwa ku Poliisi y’e Kirinnya ne baggulibwako omusango gw’okubba omwana ku fayiro nnamba SD REF; 25/09/10/2016.

 

ABAKYALA BAZAALIRA BASAWO BABBI---KITALO NYO

Posted on 4th October, 2014
Muliika advises the Uganda Parliament over the future of Constitutional making for the future of the Children and Grandchildren of this politically disturbed continent of Africa.
 
Publish Date: May 28, 2015
 
 
 
Dan Muliika and the Chairman of Evolution for Human Diginity Foundation,
secretary, Joseph Munyaneza and mobiliser Nyakojo Byaruhanga appeared
before the Parliament legal committee.
 
By Paul Lubwama 

 

Members of Parliament on the Legal and parliamentary affairs committee have clashed with the chairperson of Evolution for Human Dignity, Dan Muliika who questioned their mandate to amend the constitution. 

 

Muliika, the former Buganda Katikkiro who appeared before the committee to present views on the amendments asserted that members that parliament and political parties have usurped the citizens’ powers to have an input in the amendments. 

 

He told the committee chaired by Kajara County MP Steven Tashobya that: “there is need to have a new constitution because the current one was amended with selfish interests of politicians.”

 

lsingiro South MP Alex Byarugaba challenged Muliika saying the changing society warrants a constitutional review. 

 

 

 

Members of the Parliament of Ruanda in Africa are to debate to allow Mr Kagame to seek a third term of rule: 
What are the future ramification for the Children and Grand Children of this politically disturbed continent of Africa? 

Publish Date: May 28, 2015

Mr Paul Kagame, President of the Republic of Rwanda.
  

 

KIGALI - Rwanda's parliament is to debate changing the country's constitution in order to allow its strongman President Paul Kagame to stand for a third consecutive term in elections in 2017, an official said Wednesday.

 

The debate, set to take place over the next two months, was prompted by parliament being handed petitions signed by a total of two million people -- or roughly 17 percent of the population -- asking for the constitution to be changed, the head of the chamber, Donatilla Mukabalisa, told AFP.

 

The announcement comes amid a wider controversy on the African continent over leaders changing constitutions in order to stay in office.

 

Last year Burkina Faso's former president Blaise Compaore was chased out after trying to stay put, while Rwanda's southern neighbour, Burundi, has been wracked by weeks of civil unrest and experienced a coup attempt over President Pierre Nkurunziza's attempt to do the same.

 

But Mukabalisa said moves for Kagame to stay in office were different.

 

"We have received two million requests," she said, explaining that parliament has been receiving a number of what she insisted were spontaneous letters and petitions from individuals, groups or associations.

 

Kagame, 57, has been at the top of Rwandan politics since 1994, when an offensive by his ethnic Tutsi rebel force, the Rwandan Patriotic Front (RPF), put an end to a genocide by Hutu extremists that left an estimated 800,000 of his community dead.

 

He first served as minister of defence and vice president, and then took the presidency in 2003, winning 95 percent of the vote. He was re-elected in 2010 with a similarly resounding mandate.

 

Rwanda's constitution, however, does not allow for a third term so it would need to be modified.

 

Rwandan officials have strongly denied that it is Kagame who is seeking a third term, insisting that the president -- hailed by his supporters as a guarantor of post-genocide security and stability, as well as a champion of economic development -- enjoys popular demand for him to stay.

 

Popular demand or theatre?

 

According to Mukabalisa, the petitions were the result of this popular demand for Kagame to stay and not because of elaborate machinations by the ruling party.

 

"It is the people who have taken this initiative," she said. "They were not forced to do so in any way. When they express their wishes, we can see that they are doing so from the bottom of their hearts. It is not something that we dictate."

 

"If we look at where the country was in 1994 and where it is now, the development has been spectacular," she added.

 

Mukabalisa said the Rwandan parliament and senate, both of which are dominated by Kagame's RPF, would debate the matter between June 5 and August 4.

 

But Rene Mugenzi, a Rwandan human rights activists who lives in exile in London, dismissed the petitions as a "stage-managed" ruling party initiative designed to show to the world that Rwanda is undergoing "constitutional change demanded by the people" and that Kagame is not just another African dictator.

 

"The government has been going to every level of society to get people to sign a petition," he alleged, claiming that Rwandans were being forced to sign or else face the risk of losing their jobs or being socially excluded.

 

According to Rwanda observers, the RPF's political office gave the green light for public debate on the issue to start in December, with the RPF's network delivering the message that the constitution can be changed.